Proverbs 2:3-9

3ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 abw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 bawo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 cKubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 d Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 eAbatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

9Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
Copyright information for LugEEEE